6
Abemikwano
Muganzi wo alaze wa,
ggwe akira abakyala bonna obulungi?
Muganzi wo yakutte lya wa
tumukunoonyezeeko?
Omwagalwa
Muganzi wange aserengese mu nnimiro ye,
mu misiri egy’ebirime ebyakaloosa,
okulabirira ennimiro ye
n’okunoga amalanga.
Muganzi wange, wange, nange ndi wuwe;
anoonyeza mu malanga.
Owoomukwano
Oli mubalagavu nga Tiruza,* Tiruza kyali kibuga kya dda mu Kanani ekyalondebwa Yerobowaamu mu 930-909 bc okuba ekibuga ekikulu eky’Obwakabaka bw’omu Bukiikakkono
omwagalwa wange, omulungi nga Yerusaalemi,
era ow’ekitiibwa ng’eggye eririna ebendera.
Tontunuulira nnyo
kubanga amaaso go gantawanya.
Enviiri zo ziri ng’ekisibo eky’embuzi,
eziserengeta okuva e Gireyaadi.
Amannyo go gali ng’ekisibo eky’endiga
eziva okunaazibwa;
buli emu nnongo eri n’ennongo ginnaayo,
so tewali eri yokka.
Obwenyi bwo bw’obisse mu lugoye,
buli ng’ebitundu by’amakomamawanga.
Ne bwe walibeerawo bakabaka abakazi nkaaga,
n’abazaana kinaana,
n’abawala embeerera abatamanyiddwa muwendo,
ejjiba lyange, owange ataliiko bbala, ow’enjawulo,
mwana muwala eyazaalibwa yekka, ayagalibwa ennyo nnyina
okusinga abalala, y’ansingira mu bonna.
Abawala baamulaba ne bamuyita wa mukisa;
bakabaka abakazi n’abazaana baamutenda.
Abemikwano
10 Ani ono alabika ng’emmambya,
omulungi ng’omwezi, atangalijja ng’enjuba,
alina ekitiibwa ng’eky’emunnyeenye?
Owoomukwano
11 Naserengeta mu nnimiro ey’emiti egy’ensigo okwetegereza
okumulisa okw’ebimera eby’omu kiwonvu,
okulaba omuzabbibu obanga gwamulisa,
n’okulaba emikomamawanga oba nga gyamera.
12 Bwe nnali nkyali awo
emmeeme yange n’egenda eri amagaali ag’obwakabaka ag’omu bantu bange.
Abemikwano
13 Komawo, Komawo, ggwe Omusulamu;
komawo, komawo tukutunuleko.
Owoomukwano
Lwaki mutunuulira Omusulamu
ng’abali ku mazina ga Makanayimu?

*6:4 Tiruza kyali kibuga kya dda mu Kanani ekyalondebwa Yerobowaamu mu 930-909 bc okuba ekibuga ekikulu eky’Obwakabaka bw’omu Bukiikakkono