51
Ekibonerezo kya Babulooni
Bw’ati bw’ayogera Mukama nti,
“Laba, ndiyimusa omwoyo gw’omuzikiriza
alumbe Babulooni n’abantu ba Lebukamaayi.
Ndituma abagwira e Babulooni
bamuwewe era bazikirize ensi ye;
balimulumba ku buli luuyi
ku lunaku olw’okuzikirira kwe.
Omulasi talikuba busaale bwe,
taliyambala wadde ebyambalo bye ebyokulwanyisa.
Temusonyiwa batabani be;
muzikiririze ddala amaggye ge.
Baligwa nga battiddwa e Babulooni,
nga batuusiddwako ebiwundu eby’amaanyi mu nguudo ze.
Kubanga Yuda ne Isirayiri tebinnalekebwa
Katonda waabwe, oyo Mukama Katonda ow’Eggye,
wadde ng’ensi yaabwe esingiddwa omusango
mu maaso g’Omutukuvu wa Isirayiri.
 
“Mudduke Babulooni.
Mudduke okuwonya obulamu bwammwe.
Temusaanawo olw’ebibi bye.
Kiseera kya Mukama okwesasuza;
alimusasula ekyo ekimusaanira.
Babulooni yali kikompe kya zaabu mu mukono gwa Mukama;
yatamiiza ensi yonna.
Amawanga gaanywa wayini we,
kyegavudde galaluka.
Babulooni kirigwa mangu ago ne kimenyekamenyeka.
Mukikungubagire.
Munoonye eddagala olw’obulumi bw’akyo
oboolyawo anaawonyezebwa.
 
“ ‘Twandiwonyezza Babulooni,
naye tayinza kuwonyezeka.
Leka tumuleke buli muntu adde mu nsi ye,
kubanga omusango gwe gutuuse mu bwengula,
gusituse gulinnye okutuuka ku bire.’
 
10 “ ‘Mukama atulwaniridde,
mujje tukitegeeze mu Sayuuni
ekyo Mukama Katonda waffe ky’akoze.’
 
11 “Muwagale obusaale,
mukwate engabo!
Mukama ayungudde bakabaka ab’e Bumeedi,
kubanga ekigendererwa kye kuzikiriza Babulooni.
Mukama aliwalana eggwanga,
aliwalana eggwanga olwa yeekaalu ye.
12 Muyimuse bendera mwolekere bbugwe wa Babulooni!
Mwongereko abakuumi,
muteekeko abaserikale,
mutegeke okulumba mbagirawo!
Mukama alituukiriza ekigendererwa bye,
ensala ye okwolekera abantu ba Babulooni.
13 Gwe abeera okumpi n’amazzi amangi,
omugagga mu bintu eby’omuwendo,
enkomerero yo etuuse,
ekiseera kyo eky’okuzikirizibwa kituuse.
14  Mukama Katonda ow’Eggye yeerayiridde ku lulwe;
ddala ndikujjuza abasajja, ng’ebibinja by’enzige,
era balireekaana nga bakuwangudde.
 
15 “Ensi yagikola n’amaanyi ge;
yagiteekawo n’amagezi ge,
n’ayanjuluza eggulu n’okutegeera kwe.
16 Bw’abwatuka, amazzi ag’omu ggulu gawuluguma;
ayimusa ebire okuva ku nkomerero y’ensi.
Amyansisa eggulu mu nkuba
era n’aggya empewo mu mawanika ge.
 
17 “Buli muntu talina magezi wadde okutegeera;
Buli muweesi aswadde olw’ebifaananyi bya bakatonda by’akoze n’emikono gye.
Ebifaananyi bye bya bulimba;
tebirina mukka.
18 Tebiriiko kye bigasa, ebisaanye okunyoomebwa
ebirizikirizibwa nga Mukama azze okusala omusango.
19 Oyo omugabo gwa Yakobo tali nga bano,
kubanga yakola ebintu byonna,
nga mwotwalidde n’eggwanga ly’omugabo gwe,
n’erinnya lye ye Mukama Katonda ow’Eggye.
 
20 “Muli mbazzi yange,
ekyokulwanyisa kyange eky’olutalo,
mmwe be nkozesa okubetenta amawanga,
mmwe be nkozesa okuzikiriza obwakabaka,
21 era ggwe gwe ndikozesa okubetenta embalaasi n’omwebagazi,
ggwe gwe ndikozesa okubetenta ekigaali n’omuvuzi waakyo,
22 era ggwe gwe ndikozesa okubetenta omusajja n’omukazi,
era ggwe ndikozesa okubetenta omukadde n’omuvubuka,
era ggwe gwe ndikozesa okubetenta omuvubuka n’omuwala omuto.
23 Ggwe gwe ndikozesa okubetenta omusumba n’ekisibo kye,
ggwe gwe ndikozesa okubetenta omulimi n’ente ennume,
ggwe gwe ndikozesa okubetenta bagavana n’abakungu.
24 “Ndisasula Babulooni ne bonna ababeeramu nga mulaba olw’ebibi byonna bye baakola mu Sayuuni,” bw’ayogera Mukama.
25 “Mbalinako ensonga, ggwe olusozi oluzikiriza,
mmwe abazikiriza ensi yonna,”
bw’ayogera Mukama.
“Ndikugolererako omukono gwange,
nkusuule ku mayinja g’ensozi,
nkufuule olusozi olutakyayaka.
26 Tewali jjinja lirikuggibwako kukola jjinja lya ku nsonda,
wadde ejjinja lyonna okukola omusingi,
kubanga olibeera matongo emirembe gyonna,”
bw’ayogera Mukama.
 
27 “Yimusa bendera mu ggwanga!
Fuuwa omulere mu mawanga!
Tegeka amawanga okumulwanyisa;
koowoola obwakabaka buno bumulumbe:
obwa Alalati ne Mini ne Asukenaazi.
Londa omuduumizi amulumba,
weereza embalaasi eziri ng’ekibinja ky’enzige.
28 Teekateeka amawanga okumulwanyisa;
bakabaka Abameedi,
bagavana baabwe era n’abakungu baabwe bonna,
n’amawanga ge bafuga.
29 Ensi ekankana ne yeenyola olw’obulumi,
kubanga ebigendererwa bya Mukama eri Babulooni tebikyuka,
okuzikiriza ensi ya Babulooni
waleme kubaawo agibeeramu.
30 Abalwanyi ba Babulooni balekedde awo okulwana;
basigadde mu bigo byabwe.
Baweddemu amaanyi;
bafuuse nga bakazi.
Ebifo bye mw’abeera byokeddwa omuliro;
emitayimbwa gy’oku nzigi ze gimenyeddwa.
31 Matalisi omu agoberera omulala,
omubaka omu n’agoberera munne,
okulangirira eri kabaka w’e Babulooni nti
ekibuga kye kyonna kiwambiddwa,
32 entindo z’emigga baziwambye,
ensenyi ziyidde omuliro,
n’abaserikale batidde.”
33 Bw’ati bw’ayogera Mukama ow’Eggye, Katonda wa Isirayiri nti,
“Muwala wa Babulooni ali ng’egguuliro,
mu kiseera w’analinnyiririrwa;
ebiseera eby’okumukungula binaatera okutuuka.”
34 “Nebukadduneeza kabaka w’e Babulooni atukubyekubye,
atutabudde,
tufuuse ekikompe ekyereere.
Atumize ng’omusota
n’olubuto lwe n’alujjuza ebyassava byaffe ebiwooma,
ffe n’atusesema.
35 Leka okubonaabona okututuuseeko kubeere ku Babulooni,”
bwe boogera abatuula mu Sayuuni.
“Leka omusaayi gubeere ku abo ababeera mu Babulooni,”
bwayogera Yerusaalemi.
36  Mukama kyava ayogera nti,
“Laba ndikulwanirira era ndikuwolerera eggwanga;
Ndikaliza ennyanja ye
n’ensulo ze.
37 Babulooni kirifuuka bifunvu,
mpuku ya bibe,
ekintu ekyenyinyalwa n’okusekererwa,
ekifo omutali abeeramu.
38 Abantu baakyo bonna bawuluguma ng’empologoma ento,
bavuumira wamu ng’abaana b’empologoma.
39 Naye nga bakyabuguumirira,
ndibategekera ekijjulo,
mbatamiize
balyoke balekaane nga baseka,
olwo beebake emirembe gyonna nga tebazuukuse,”
bw’ayogera Mukama.
40 “Ndibaserengesa
ng’abaana b’endiga, battibwe,
ng’endiga n’embuzi.
 
41 “Sesaki nga kiriwambibwa,
okujaguza kw’ensi yonna kugwewo.
Babulooni kifuuse matongo eri amawanga!
42 Ennyanja eribuutikira Babulooni;
amayengo gaayo agawuluguma galigisaanikira.
43 Ebibuga bye birisigala matongo,
ensi enkalu ey’eddungu,
ensi eteriimu muntu,
eteyitamu muntu yenna.
44 Ndibonereza Beri mu Babulooni,
mmusesemye bye yali amize.
Amawanga nga tegakyesomba kugenda gyali.
Ne bbugwe wa Babulooni aligwa.
 
45 “Mukiveemu, abantu bange!
Mudduke muwonye obulamu bwammwe!
Mudduke muwone obusungu bwa Mukama obubuubuuka.
46 Temutya wadde okuggwaamu amaanyi
ng’eŋŋambo ziyitiŋŋana mu nsi;
olugambo olumu lujja omwaka guno, olulala omwaka ogujja,
eŋŋambo z’entalo mu ggwanga,
era ez’omufuzi ng’alwana ne mufuzi munne.
47 Kubanga ekiseera kijja
lwe ndibonereza ebifaananyi bya bakatonda ba Babulooni abaakolebwa n’emikono;
ensi eyo yonna eritabanguka,
n’emirambo gy’abantu baayo abattiddwa gyonna gibeere omwo.
48 Eggulu n’ensi ne byonna ebibirimu
birireekana olw’essanyu olwa Babulooni,
abalimuzikiriza balimulumba
okuva mu bukiikakkono,”
bw’ayogera Mukama.
 
49 “Babulooni kirigwa olw’Abayisirayiri abaafa,
nga bonna abaafa mu nsi yonna
bwe baweddewo olwa Babulooni.
50 Mmwe abawonye ekitala,
mwanguwe okugenda!
Mujjukire Mukama nga muli mu nsi ey’ewala,
mulowooze ku Yerusaalemi.”
51 “Tuweddemu amaanyi
kubanga tuvumiddwa
era tukwatiddwa ensonyi,
kubanga abagwira bayingidde
mu bifo ebitukuvu eby’ennyumba ya Mukama.”
 
52 “Naye ennaku zijja,” bw’ayogera Mukama,
“lwe ndibonereza ebifaananyi bya bakatonda be, be yakola n’emikono,
era mu nsi ye yonna,
abaliko ebisago balisinda.
53 Newaakubadde nga Babulooni atuuka ku bire
era ne yeenyweza n’ebigo bye eby’amaanyi,
ndimusindikira abazikiriza,”
bw’ayogera Mukama.
 
54 “Eddoboozi ly’okukaaba liva mu Babulooni,
eddoboozi ery’okuzikirira okunene
okuva mu nsi y’Abakaludaaya.
55  Mukama alizikiriza Babulooni,
alizikiza oluyoogaano lwakyo olunene.
Amayengo g’abalabe galijja ng’amazzi amangi;
okuwuluguma kw’amaloboozi kuliwulirwa.
56 Omuzikiriza alirumba Babulooni;
abalwanyi be baliwambibwa,
n’emitego gyabwe girimenyebwa.
Kubanga Mukama Katonda asasula,
alisasula mu bujjuvu.
57 Nditamiiza abakungu be n’abasajja be abajjudde amagezi,
ne bagavana, ab’ebitongole awamu n’abalwanyi;
balyebaka emirembe gyonna era tebalizuukuka,”
bw’ayogera Kabaka ayitibwa Mukama Katonda ow’Eggye.
58 Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda ow’Eggye nti,
“Bbugwe wa Babulooni omunene alisendebwa
era n’emiryango gye emiwanvu gyokebwe;
abantu beetawanyiza bwerere nga bafuba,
okutawaana kw’eggwanga kuliba nku za muliro.”
59 Buno bwe bubaka Yeremiya bwe yawa omukungu Seraya mutabani wa Neriya, mutabani wa Maseya, bwe yagenda e Babulooni ne Zeddekiya kabaka wa Yuda, nga Zeddekiya afuga mu mwaka gwe ogwokuna. Seraya ye yali omu ku bakungu abakulu. 60 Yeremiya yali awandiise mu muzingo ebikangabwa byonna ebyali bigenda okutuuka ku Babulooni, byonna ebyali biwandiikiddwa ebyali bikwata ku Babulooni. 61 Yagamba Seraya nti, “Bw’otuuka mu Babulooni, laba ng’osoma mu ddoboozi ery’omwanguka ebigambo bino byonna. 62 Olwo ogambe nti, ‘Ayi Mukama, ogambye nti olizikiriza ekifo kino, nti tewali nsolo oba muntu alikibeeramu; kibeere matongo emirembe gyonna.’ 63 Bw’omalanga okusoma omuzingo guno gusibeeko ejjinja ogukanyuge mu mugga Fulaati. 64 Olyoke ogambe nti, ‘Bw’ati Babulooni bwalisaanawo aleme kubbulukuka olw’akabi ke ndimuleetako. N’abantu be balizikirira.’ ”
Ebigambo bya Yeremiya bikoma awo.