48
Katonda bye Yayogera Bituukirira
1 “Muwulire kino, mmwe ennyumba ya Yakobo,
abayitibwa erinnya lya Isirayiri,
era abaava mu nda ya Yuda.
Mmwe abalayirira mu linnya lya Mukama,
era abaatula Katonda wa Isirayiri,
naye si mu mazima wadde mu butuukirivu.
2 Kubanga beeyita ab’ekibuga ekitukuvu,
abeesiga Katonda wa Isirayiri,
Mukama Katonda ow’Eggye lye linnya lye.
3 Okuva ku ntandikwa, nayasanguza ebyali bigenda okubaawo;
byava mu kamwa kange ne mbyogera.
Amangwago ne tubikola ne bituukirira.”
4 Kubanga namanya obukakanyavu bwammwe;
ebinywa by’ensingo nga bikakanyavu ng’ekyuma;
ekyenyi ng’ekikomo.
5 Nabamanyisizaawo edda ebyali bigenda okujja nga tebinnabaawo,
muleme kugamba nti,
“Bakatonda bange be baabikola:
Ekifaananyi kyange ekyole
n’ekifaananyi ekisaanuuse bye byakikola.”
6 Mulabe ebintu bino nabibagamba dda,
era temubikkirize?
“Okuva leero nzija kubabuulira ku bintu ebiggya ebigenda okujja,
eby’ekyama bye mutawulirangako.
7 Mbikola kaakano,
so si ekiseera ekyayita:
mwali temubiwulirangako mu biseera eby’emabega
si kulwa nga mugamba nti, ‘Laba nnali mbimanyi.’
8 Towulirangako wadde okutegeera.
Okuva edda n’edda okutu kwo tekuggukanga.
Kubanga namanya nti wali kyewaggula,
okuva ku kuzaalibwa kwo wayitibwa mujeemu.
9 Olw’erinnya lyange
ndwawo okusunguwala. Olw’ettendo lyange
ndwawo okukusunguwalira nneme okukuzikiriza.
10 Laba nkugezesezza naye si nga ffeeza.
Nkugezesezza mu kirombe ky’okubonaabona.
11 Ku lwange nze,
ku lwange nze ndikikola. Erinnya lyange nga livumiddwa.
Ekitiibwa kyange sirikiwa mulala.
Isirayiri Enunulibwa
12 “Mpuliriza ggwe Yakobo.
Isirayiri gwe nalonda.
Nze Nzuuyo.
Nze ow’olubereberye era nze ow’enkomerero.
13 Omukono gwange gwe gwateekawo omusingi gw’ensi,
era omukono gwange ogwa ddyo ne gwanjuluza eggulu.
Bwe mbiyita
byombi bijja.
14 “Mwekuŋŋaanye mwenna
mujje muwulire!
Ani ku bo eyali alangiridde ebintu bino?
Mukama amwagala; ajja kutuukiriza ekigendererwa kye e Babulooni,
era omukono gwe gwolekere Abakaludaaya.* Abakaludaaya be Bababulooni
15 Nze; Nze nzennyini nze njogedde.
Nze namuyita.
Ndimuleeta
era alituukiriza omulimu gwe.
16 “Munsemberere muwulirize bino.
“Okuva ku lubereberye saayogera mu kyama.
Nze mbaddewo okuviira ddala ku ntandikwa.”
Era kaakano Mukama Ayinzabyonna
n’Omwoyo we antumye.
17 Bw’atyo bw’ayogera Mukama, Omununuzi wammwe,
Omutukuvu wa Isirayiri nti,
“Nze Mukama Katonda wo
akuyigiriza okukulaakulana,
akukulembera mu kkubo ly’oteekwa okutambuliramu.
18 Singa kale wali owulirizza ebiragiro byange!
Wandibadde n’emirembe egikulukuta ng’omugga!
Era n’obutuukirivu bwo ng’amayengo g’ennyanja,
19 ezzadde lyo lyandibadde ng’omusenyu
abaana bo ng’obuweke bwagwo.
Erinnya lyabwe teryandivuddewo
wadde okuzikirira nga wendi.”
20 Muve mu Babulooni,
mudduke Abakaludaaya.
Mugende nga mutegeeza amawulire gano n’essanyu.
Mugalangirire wonna wonna
n’okutuusa ku nkomerero y’ensi.
Mugambe nti, “Mukama anunudde omuddu we Yakobo!”
21 So tebaalumwa nnyonta bwe yabayisa mu malungu.
Yabakulukusiza amazzi mu lwazi:
yayasa olwazi
amazzi ne gavaamu.
22 “Tewali mirembe eri aboonoonyi,” bw’ayogera Mukama.