33
1 Zikusanze ggwe omuzikiriza
ggwe atazikirizibwanga.
Zikusanze ggwe alya olukwe mu balala,
ggwe, gwe batalyangamu lukwe,
bw’olirekaraawo okuzikiriza,
olizikirizibwa.
Bw’olirekeraawo okulya mu balala olukwe,
balikulyamu olukwe.
2 Ayi Mukama tusaasire,
tukuyaayaanira.
Obeere amaanyi gaffe buli makya,
obulokozi bwaffe mu biro eby’okulabiramu ennaku.
3 Olw’eddoboozi ery’okubwatuka, abantu balidduka,
bw’ogolokoka, amawanga gasaasaana.
4 Omunyago gwo, gukungulwa enzige ento,
era abantu bagugwako ng’ekibinja ky’enzige.
5 Mukama agulumizibwe, kubanga atuula waggulu,
alijjuza Sayuuni n’obwenkanya n’obutuukirivu.
6 Y’aliba omusingi omugumu mu biro byo,
nga lye tterekero eggagga ery’obulokozi, n’amagezi n’okumanya.
Okutya Mukama kye kisumuluzo kye tterekero ly’obugagga obwo.
7 Laba abasajja abazira ab’amaanyi bakaabira mu nguudo mu ddoboozi ery’omwanguka,
n’ababaka ab’emirembe bakaaba nnyo.
8 Enguudo ennene tezitambulirwako,
tewali azitambulirako.
Endagaano yamenyebwa,
n’abajulizi baayo banyoomebwa,
tewali assibwamu kitiibwa.
9 Ensi ekungubaga era eyongobera,
Lebanooni aswadde era awotose;
Saloni ali ng’eddungu,
ng’asuula Basani ne Kalumeeri.
10 Mukama agamba nti, “Kaakano nnaagolokoka,
kaakano nnaagulumizibwa,
kaakano nnaayimusibwa waggulu.
11 Ofuna olubuto olw’ebisusunku,
ozaala ssubi,
omukka gwo, muliro ogukusaanyaawo.
12 Abantu balyokebwa nga layimu bw’ayokebwa,
balyokebwa omuliro ng’ebisaka by’amaggwa amasale.”
13 Mmwe abali ewala, mutegeere kye nkoze.
Mmwe abali okumpi, mukkirize amaanyi gange.
14 Abakozi b’ebibi ab’omu Sayuuni batidde,
okutya kujjidde abatalina Katonda.
“Ani ku ffe ayinza okubeera awamu n’omuliro ogusaanyaawo?
Ani ku ffe ayinza okubeera awamu n’omuliro ogutaliggwaawo?”
15 Atambulira mu butuukirivu,
n’ayogera ebituufu,
oyo atatwala magoba agava mu bubbi,
n’akuuma emikono gye obutakkiriza nguzi,
aziba amatu ge n’atawulira ntegeka za kutta,
n’aziba amaaso ge obutalaba nteekateeka ezitali za butuukirivu,
16 ye muntu alituula waggulu mu bifo ebya waggulu,
n’obuddukiro bwe buliba ebigo eby’omu nsozi.
Aliweebwa emmere,
n’amazzi tegalimuggwaako.
17 Amaaso go galiraba kabaka mu bulungi bwe,
ne galaba ensi eyeewala.
18 Omutima gwo gulifumiitiriza ku ntiisa ng’ogamba nti,
“Omukungu omukulu ali ludda wa?
Ali ludda wa eyasoloozanga omusolo?
Omukungu avunaanyizibwa eminaala ali ludda wa?”
19 Toliddayo kulaba bantu abo ab’amalala,
abantu ab’olulimi olutamanyiddwa,
olulimi olutategeerekeka.
20 Tunuulira Sayuuni ekibuga eky’embaga zaffe,
amaaso go galiraba Yerusaalemi,
ekifo eky’emirembe, eweema etalisimbulwa
enkondo zaayo tezirisimbulwa,
newaakubadde emiguwa gyayo okukutulwa.
21 Weewaawo Mukama aliba Amaanyi gaffe
era aliba ekifo eky’emigga emigazi n’ensulo engazi.
Temuliyitamu lyato
newaakubadde ekyombo ekinene tekiriseeyeeyeramu.
22 Kubanga Mukama ye mulamuzi waffe,
Mukama y’atuwa amateeka,
Mukama ye Kabaka waffe,
y’alitulokola.
23 Emiguwa gyo gisumulukuse
n’omulongooti si munywevu,
n’ettanga si lyanjuluze.
Awo omugabo omungi guligabanyizibwamu,
n’abalala balitwala eby’omunyago.
24 Tewali abeera mu Sayuuni alyogera nti, “Ndi mulwadde,”
n’abo ababeeramu balisonyiyibwa ekibi kyabwe.