6
Ekika kya Leevi
1 Batabani ba Leevi baali
Gerusoni, ne Kokasi ne Merali.
2 Batabani ba Kokasi ne baba
Amulaamu, ne Izukali, ne Kebbulooni, ne Wuziyeeri.
3 Ate abaana ba Amulaamu baali
Alooni, ne Musa ne Miryamu.
Batabani ba Alooni baali
Nadabu, ne Abiku, ne Eriyazaali ne Isamaali.
4 Eriyazaali n’azaala Finekaasi,
ate Finekaasi n’azaala Abisuwa;
5 Abisuwa n’azaala Bukki,
ate Bukki n’azaala Uzzi;
6 Uzzi n’azaala Zerakiya,
ne Zerakiya n’azaala Merayoosi;
7 Merayoosi n’azaala Amaliya,
ne Amaliya n’azaala Akitubu;
8 Akitubu n’azaala Zadooki,
ate Zadooki n’azaala Akimaazi;
9 Akimaazi n’azaala Azaliya,
ne Azaliya n’azaala Yokanaani;
10 Yokanaani n’azaala Azaliya (oyo ye yaweerezanga nga kabona mu yeekaalu sulemaani gye yazimba mu Yerusaalemi);
11 Azaliya n’azaala Amaliya,
ne Amaliya n’azaala Akitubu;
12 Akitubu n’azaala Zadooki,
ne Zadooki n’azaala Sallumu;
13 Sallumu n’azaala Kirukiya,
ne Kirukiya n’azaala Azaliya;
14 Azaliya n’azaala Seraya,
ne Seraya n’azaala Yekozadaki;
15 Yekozadaki yatwalibwa mu buwaŋŋanguse Mukama bwe yawaayo Yuda ne Yerusaalemi mu mukono gwa Nebukadduneeza.
16 Batabani ba Leevi baali
Gerusomu, ne Kokasi ne Merali.
17 Gano ge mannya g’abatabani ba Gerusomu,
ne Libuni ne Simeeyi.
18 Batabani ba Kokasi baali
Amulaamu, ne Izukali, ne Kebbulooni ne Wuziyeeri.
19 Batabani ba Merali baali
Makuli ne Musi.
Gino gy’emituba egy’Abaleevi okutandika ne bajjajja baabwe:
20 Abaava mu Gerusomu baali
Libuni mutabani we, ne Yakasi,
ne Zimura, 21 ne Yowa,
ne Iddo, ne Zeera,
ne Yeyaserayi.
22 Bazzukulu ba Kokasi baali
Amminadaabu mutabani we, Koola muzzukulu we,
Assiri muzzukulu we; 23 Erukaana muzzukulu we,
Ebiyasaafu muzzukulu we, Assiri muzzukulu we;
24 Takasi muzzukulu we, Uliyeri muzzukulu we, Uzziya muzzukulu we, ne Sawuli muzzukulu we.
25 Batabani ba Erukaana baali
Amasayi ne Akimosi,
26 ne bazzukulu be nga be ba Erukaana, ne Zofayi,
ne Nakasi, 27 ne Eriyaabu,
ne Yerokamu, ne Erukaana
ne Samwiri.
28 Batabani ba Samwiri baali
Yoweeri omuggulanda we,
n’owokubiri nga ye Abiya.
29 Bazzukulu ba Merali baali
Makuli, ne Libuni,
ne Simeeyi, ne Uzza,
30 ne Simeeyi, ne Kaggiya
ne Asaya, ng’omu ye kitaawe w’omulala nga bwe baddiriŋŋana.
31 Bano be basajja Dawudi be yalonda okukulira eby’ennyimba mu nnyumba ya Mukama, essanduuko ng’eteekeddwamu. 32 Baaweererezanga mu nnyimba mu maaso g’ekuŋŋaaniro ey’Eweema ey’Okusisikanirangamu, okutuusa Sulemaani lwe yazimba yeekaalu ya Mukama mu Yerusaalemi. Era bakolanga emirimu gyabwe, nga bagoberera ebiragiro ebyabaweebwa.
33 Bano be basajja abaaweerezanga, wamu ne batabani baabwe:
Okuva mu Abakokasi;
Kemani, omuyimbi,
mutabani wa Yoweeri, muzzukulu wa Samwiri,
34 muzzukulu wa Erukaana, muzzukulu wa Yerokamu,
muzzukulu wa Eryeri, muzzukulu wa Toowa,
35 muzzukulu wa Zufu, muzzukulu wa Erukaana,
muzzukulu wa Makasi, muzzukulu wa Amasayi;
36 muzzukulu wa Erukaana, muzzukulu wa Yoweeri,
muzzukulu wa Azaliya, muzzukulu wa Zeffaniya,
37 muzzukulu wa Takasi, muzzukulu wa Assiri,
muzzukulu wa Ebiyasaafu, muzzukulu wa Koola,
38 muzzukulu wa Izukali, muzzukulu wa Kokasi,
muzzukulu wa Leevi, mutabani wa Isirayiri.
39 Kemani yalina muganda we Asafu eyamuyambangako mu mulimu ogwo, era n’ab’enju ye baali bwe bati:
Asafu mutabani wa Berekiya, muzzukulu wa Simeeyi,
40 muzzukulu wa Mikayiri, muzzukulu wa Baaseya,
muzzukulu wa Malukiya, 41 muzzukulu wa Esuni,
muzzukulu wa Zeera, muzzukulu wa Adaaya,
42 muzzukulu wa Esani, muzzukulu wa Zimma,
muzzukulu wa Simeeyi, 43 muzzukulu wa Yakasi,
muzzukulu wa Gerusoni, mutabani wa Leevi.
44 Ne baganda be abalala abaamuyambangako baali abazzukulu ba Merali, mutabani wa Leevi,
Esani mutabani wa Kiisi, muzzukulu wa Abudi,
muzzukulu wa Malluki, 45 muzzukulu wa Kasukabiya,
muzzukulu wa Amaziya, muzzukulu wa Kirukiya, muzzukulu wa Amaziya,
46 muzzukulu wa Amuzi, muzzukulu wa Bani,
muzzukulu wa Semeri, 47 muzzukulu wa Makuli,
muzzukulu wa Musi, muzzukulu wa Merali,
mutabani wa Leevi.
48 Baganda baabwe Abaleevi baavunaanyizibwanga okukola emirimu gyonna egy’omu Weema, ye Nnyumba ya Katonda.
Ennyumba ya Alooni
49 Naye Alooni ne batabani be ne bazzukulu be, be baawangayo ku kyoto ebiweebwayo ebyokebwa ne ku kyoto eky’okwoterezangako obubaane olw’ebyo byonna ebyakolebwanga mu Kifo ekisinga Obutukuvu, olw’okutangirira Isirayiri, nga Musa, omuddu wa Katonda bwe yalagira.
50 Bano be baava mu nda ya Alooni:
mutabani we Eriyazaali, muzzukulu we Finekaasi,
muzzukulu we Abisuwa, 51 muzzukulu we Bukki,
muzzukulu we Uzzi, muzzukulu we Zerakiya,
52 muzzukulu we Merayoosi, muzzukulu we Amaliya,
muzzukulu we Akitubu, 53 muzzukulu we Zadooki,
ne muzzukulu we Akimaazi.
54 Bino by’ebifo ebyabaweebwa okutuulamu ng’ensi yaabwe era bino bye byali biweereddwa bazzukulu ba Alooni Abakokasi, kubanga be baasooka okufuna omugabo.
55 Baaweebwa Kebbulooni mu nsi ya Yuda, n’amalundiro agakyetoolodde, 56 naye ennimiro n’ebyalo ebyetoolodde ekibuga ekyo, byaweebwa Kalebu mutabani wa Yefune. 57 Bazzukulu ba Alooni baaweebwa Kebbulooni, ekibuga eky’okwekwekamu, Libuna n’amalundiro gaakyo, 58 Kireni n’amalundiro gaakyo, Debiri n’amalundiro gaakyo, 59 Asani n’amalundiro gaakyo, ne Besusemesi n’amalundiro gaakyo.
60 Ate n’okuva eri ekika kya Benyamini baaweebwa Gibyoni* Gibyoni erinnya eryo teryali mu muzingo ogwawandiikibwa mu Lwebbulaniya ne Geba, ne Allemesi, ne Anasosi wamu n’amalundiro gaabyo. Ebibuga byonna awamu ebyaweebwa Abakokasi byali kkumi na bisatu.
61 Bazzukulu ba Kokasi abalala baweebwa ebibuga kkumi okuva ku nda ez’ekitundu ky’ekika kya Manase nga bakuba akalulu.
62 Bazzukulu ba Gerusoni, ng’enda zaabwe bwe zaali, baaweebwa ebibuga kkumi na bisatu okuva ku bika bya Isakaali, Aseri, Nafutaali, n’okuva ku kika kya Manase mu Basani.
63 Bazzukulu ba Merali ng’enda zaabwe bwe zaali, baaweebwa ebibuga kkumi na bibiri okuva ku bika bya Lewubeeni, Gaadi ne Zebbulooni.
64 Awo Abayisirayiri ne bawa Abaleevi ebibuga ebyo ne babaweerako n’amalundiro byabyo.
65 N’ebibuga okuva mu bika bya Yuda, ne Simyoni ne Benyamini ebyogeddwako byabaweebwa nga bakuba akalulu.
66 Enda ezimu eza Kokasi zaaweebwa ebibuga okuva eri ensi y’ekika kya Efulayimu.
67 Okuva eri ensi ya Efulayimu baaweebwa Sekemu, ekibuga ky’obuddukiro, Gezeri, 68 ne Yokumyamu, ne Besukolooni, 69 ne Ayalooni ne Gasulimmoni, n’amalundiro gaabyo.
70 N’okuva eri ekitundu ky’ekika kya Manase, Abayisirayiri ne babagabira Aneri ne Biryamu, wamu n’amalundiro byako eri enda ezaali zisigaddewo eza Kokasi.
71 Abagerusomu baaweebwa ebifo bino wansi:
okuva eri ekitundu ky’ekika kya Manase baafuna Golani mu Basani ne Asutoleesi, wamu n’amalundiro byako.
72 Okuva eri ekika kya Isakaali baafuna Kedesi, Daberasi 73 Lamosi ne Anemu wamu n’amalundiro gaabyo (byako);
74 okuva eri ekika kya Aseri, baafuna Masali, Abudoni, 75 Kukkoki ne Lekobu wamu n’amalundiro gaabyo;
76 n’okuva eri ekika kya Nafutaali baafuna Kedesi eky’omu Ggaliraaya, ne Kammoni ne Kiriyasayimu wamu n’amalundiro byako.
77 Abaleevi abaali basigaddewo, be bazzukulu ba Merali, baaweebwa ebifo bino wansi:
okuva eri ekika kya Zebbulooni baafuna Limunono ne Taboli wamu n’amalundiro byabyo;
78 okuva eri ekika kya Lewubeeni, emitala wa Yoludaani ku luuyi olw’ebuvanjuba lw’e Yeriko, baafuna Bezeri ekiri mu ddungu, Yaza, 79 Kedemosi ne Mefaasi wamu n’amalundiro byabyo;
80 n’okuva eri ekika kya Gaadi baafuna Lamosi ekiri mu Gireyaadi, Makanayimu, 81 Kesuboni ne Yazeri wamu n’amalundiro byabyo.